LYRICS: 'Akudyeka' by Bat Mayas

Intro
Bampita batmayas
Teterere batmayas
Ne Jose pro ya recordinze
tetererete da surgeon

Chorus
Ono takwagala
Akudyeka dyeka omuyaaye akudyeeka
Ayagala bibyo akudyeka dyeka akuleke mu bitaala

Verse
Akulowoozesa mbu totukiridde
Buli kadde akukwata zo'ffside
Akugatta bwongo akuleke mu luwonko
Ona'kudingisa atetenkanya nsi
Emyaka agibalira kungalo amaasa'gatwalira mungalo
Kudyo nekukono yebulankanya
Alinga nga luseke lwamalwa
Anyeenyaamu eno bwasika
Tatya kuswaaza katondawe gwa saba
Omusajja gwasanga yegwasaba
Yagwa ne'bbeyi ewaabwe gyazalibwa
Abantu bamwakoko​la lwebyo byakoka ebyekikampasa
Nkusaasiddo'yo bwowasa

Chorus

Verse
Aga'maaso amalungi agakumazeemu
Aga'maaso byooya bya nswa
No'mutima byoooya bya nswa byeyakutika nokuliita
Bwakukiina nosajjalaata
Akasente nokaleeta
Kumbe gwoliko mugezi wa city ehhhh
Ono mukozi wa city
Atiguka emisana nekiro
Omukwano agugabira mu mpalo
Alina'basibe na'batambuze
Agatika buli kaze
Bwotomukyaawe nomwesibako
Ngomanya eyo nnaku gyoguze
Tatya kuswaaza bakaddebe gyasula mu basajja gyasanga ye gyasula

Chorus

Verse
Munakampala..,.......
(Munakampala mukozi aberayo mubibaala)
Okuswaala bboyi
(Okuswaala ebyo byakoma yasigala kuswaaza)
Agoba nembalu
(Atambulo'muluka akomawo ku munaana)
Nga'wunya bu beer
(Nobulenzi bwoku ddipo mubusaati obuvundu)
Ngamba nebyokuzaala
(Ewuwe byakoma nabaana bamumubbako)
Kakutande omutwaale
(ngo'manya olwe'nnaku ogyebisse obukunta.

Share Your Thoughts On These Lyrics