LYRICS: 'Embago' by Batmayas

intro
Batmayas ne jose wano mu j power
Music battalion mu mbago style
Kambasambulize embuto zibatokote
Bwenkuba nhh ngodamu nhhhh

Choir
Embago X3
Kwata embago
Embago X2
Nyweeza embago embago ejuna
Kwata embago embago ejuna
Nyweeza embago

verse 1

Atalina mukamwana yekamwane
Atalina mbago kekade aswaale
Embago yentandikwa yomunaku
Yemukulembeze womunaku
Byebabalimbalimba limbempewo
Embago yo tesuubiza mpewo
Era nabirese negyenabadde nkola
Nenzisasula bbiri kibanja mpola
Njagala nzikabaze ettaka wano mulusuku
Zigwelere nga nguze ka Isuzu
Nze embeera yomukampala okugula emmere
Aahhhaahh natamwa​ ogula emmere

Choir

Verse 2
Jiwekere nga tewejusa nakatono
Ojinyikilire wadde otemayo Katono
Bamusamba nnanda wano mukibuga
Bebalina sente wano mukibuga
Beyambaza mubigoye bansesa
Nayenga ennusu sebo bebajogeza
Nolwekyo tomalanga obuddebwo wano ngozuba
Ne shida zomukampala gwe selengeta
Okabale kabale mpola yadde munkuba
Temayo lumonde tuvuunye emimonde
Embago Eno nze kwenakulira
Ekyabazaala baana kwebasomela
Ne Bababalanda mweyagula enziga
Embago yamaanyi gwe tojizalawa

Choir

Verse 3

Abasibe ku punishment
Babawa mbago
Dp mu palament
Eragayo mbago
Olaba ne president
Akuba embago
E rwakitura yiyayiyayiyayiya
Okusoma bwekugana
Bakuwe embago
Okuyimba bwekugana
Gulayo embago
Bokulembera bakoowa
Dda kumbago
Erwakitura yiyayiyayiyayiya

Share Your Thoughts On These Lyrics